18/08/2022
Palamenti ekkirizza gavumenti okwewola obukadde bwa ddoola 70 nga zezakuno obuwumbi 266 okuzimba ekizimbe omunaabeera eddwaliro ly’emitima erya Uganda Heart Institute okuva mu bbanka 3 eze Saudi Arabia. Amyuuka omukubiriza wa Palamenti, Thomas Tayebwa asabye aba Uganda Heart Institute okukozesa obulungi ssente zino kuba zabbanja nga eggwanga lirina okuzisasula.